Jeremiah 18:7-10

7 aEkiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 bera singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 cEra ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 dera bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

Copyright information for LugEEEE